Kooti ya LDC mu Kampala eyiimbudde ku kakalu ka kooti, ababaka ba parliament 3 n’abantu abalala 7 abaakwatibwa ku kitebe kya NUP e Kavule mu Kampala, ku bigambibwa nti baali bateeseteese olukungaana olumenya amateeka.
Abayimbuddwa kuliko omubaka wa Mityana municipality Francis Zzaake alagiddwa okusasula akakalu ka kooti ez’obuliwo shs emitwalo 200,000, ate abalala okuli owa Katikamu South Hassan Kirumira, ne Tebandeke Charles n’abantu abalala 7 balagiddwa kusasula shs emitwalo 100,000 buli omu ez’obuliwo.
Omulamuzi wa kooti ya LDC Martins Kirya, abalagidde okudda mu kooti nga 26th August 2024.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Timothy Aduti lutegeezezza kooti nti abavunaanibwa baakola akajagalalo akaali kayinza n’okuviirako okwonoona ebintu by’abantu abaliraanyeewo, ate nga baali tebafunye na lukusa lwakutegeka lukungaana lwebaali bagendamu.
Obubaka Zzaake Butebi asomeddwa n’emisango gy’okuvuga ekidduka mu ngeri etagoberera mateeka, okujeemera abakwasisa amateeka, saako okuvuga emmotoka nga talina licence.
Abavunaanibwa emisango gyonna bagyegaanye.
Bisakiddwa: Betty Zziwa