Yoweri Kaguta Museveni yalangirirwa ku buwanguzi bw’akalulu ka president akaakubwa nga 15 January,2026, yafuna ebitundu 71%.
Kasibante yaddukira mu kooti ng’awakanya obuwanguzi obwo.
Mu lutuula lwa kooti ensukkulumu olusoose nga 28 January,2026, Kasibante asabye kooti esooke eragire akakiiko k’ebyokulonda kamuwe ebyava mu kulonda, ebyuma ebyatambuza ebyava mu bululu obwabalibwa, ebyakozesebwa mu kulangirira, n’ebitereka ebyava mu kulonda bisobole okumuyamba okwongera omuzinzi mu mpaaba ye.
Wabula bannamateeka ba president Museveni, abakulembeddemu Mwesigwa Lukutana basabye kooti egobe okusaba kwa Robert Kasibante nti kuli wabweru wa mateeka.
Kooti nayo egobye okusaba kwa Kasibante kwabadde ataddeyo okw’okumuwa ebyuma ebyakozesebwa mu kubala ebyava mu kulonda.
Omusango egwongeddeyo okutuuka nga 03 February,2026, lwenaatandika okuwulira omusango ogwateekebwayo nga guwakanya obuwanguzi bwa Yoweri Kaguta Museveni.
Kasibante alumiriza Yoweri Museveni okukozesa amagye mu kulonda, okukozesa ebintu bya government, n’okugulirira abalonzi.
Mu mpaaba ye avunaana Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa, Akakiiko k’ebyokulonda ne Ssaabawolereza wa govt.
Bisakiddwa : Betty Zziwa










