Akakiiko kebyokulonda katandise ku nteekateeka y’okukuba obukonge bw’abavuganya ku kifo kya Busiro East, oluvannyuma lw’ensala ya kooti eyagobye omusango, MunnaNUP Mathias Walukagga gweyawawabira akakiiko kebyokulonda olwokumugoba mu lwokaano.
Akakiiko k’ebyokulonda kaagoba Mathias Mulumba Walukagga mu lwokaano lwokuvuganya ku kifo kino, oluvanyuma lwokukizuula nti talina buyigirize bwassalira obwa senior eyomukaaga.
Walukagga oluvanyuma lwokumugoba mu lwokaano, yaddukira mu kkooti enkulu nga awakanya ebyasalibwawo akakiiko, wabula kkooti enkulu yagobye okwemulugunyakwe.
Kooti yalagidde enjuuyi zombi okwesasulita ensimbi zonna ezisaasanyiziddwa mu musango guno.
Omulamuzi wa kkooti enkulu, Simon Peter Kinobe mu nsala ye yagambye nti ekiwandiiko ekya mature entry omuyimbi era munnaNUP Mathias Wakukagga kyeyakozesa okwewandiiisa eri akakiiko kebyokulonda kyali kyayitako ennaku, era nga kyali tekimusobozesa kwewandiisa eri akakiiko kebyokulonda nga akyesigamako ng’ekiwandiiko kyobuyigirize
Ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulomda Omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama agambye nti kooti yasaze namazima, naagamba nti bannabyabufuzi balina okumanya nti akakiiko nako amateeka kagamanyi.
Omwogezi wakakiiko kebyokulonda Julius Muchunguzi agambye nti oluvanyuma lwensalawo ya kkooti, enteekateeka zokukuba akakonge ka Busiro East zitandikiddewo era mwaami Walukagga tagenda kubeera ku kakonge
Mathias Walukagga nokutuusa kati akyakukkuluma olwokumugoba mu lwokaano, era agambye nti agenda kutuula nabakulira ekibiina kye ekya NUP nti basalewo ekiddako.
Akakiiko kagamba nti n’emisango emirala gyekalina nagyo kakola obutaweera okulaba nti kawa ensala yaagyo.
Kuno kuliko ogwa Kasirye Nganda Mulyanyama munnaNUP eyeesimbyeewo ku kifo kyomubaka wa parliament owa Makindye East Ali Mulyannyama gwebalumiriza obutabeera nabuyigirize obwa senior eyomukaaga, ne Aine Sodo Kaguta avuganya ku kifo kya mawogola North naye gwebalumiriza obutabeera nabiwandiiko byabuyigirize eby’essalira n’abalala
Okulonda kw’ababaka ba parliament ne President, kwakubaayo nga 15 January,2026












