Kkooti enkulu mu Kampala egobye okusaba Kwa munnaUPC Jimmy James Akena kweyatwala mu kkooti ng’awakanya eky’akakiiko k’ebyokulonda okumugoba mu lwokaano lwokwesimbawo kubwa president bwa Uganda mu kalulu akajja 2026, ku kaadi ya UPC
Akakiiko kebyolonda bwekaali koolekera okusunsula abaali bateekateeka okwesimbawo kubwa president, kaagoba Jimmy James Akena ne Adim Dennis Enapu mu lwokaano, nti bombi tekwaali atuukiridde okukwaata kaadi ya UPC okuvuganya ku ntebbe yobwa president, okusinziira ku ssemateeka wa UPC.
Jimmy Akena yasalawo okuddukira mu kkooti enkulu, era yagisaba eyise ekiragiro ekikaka akakiiko kebyolonda okumusunsula yeesimbawo kubwa president ku kaadi ya UPC
Wabula omulamuzi wa kkooti enkulu Bernard Namanya mu nsala esindiikiddwa ku email zabakwaatibwako, agobye okusaba Kwa Jimmy Akena naagamba nti ekiseera okusaba kuno wekwatwalibwa mu kkooti, ekiseera kyokusunsula kyali kiweddeko.
Kinnajjukirwa nti ttagali yenna ali mu UPC yava ku kisanja Kyobukulembeze bwa Jimmy Akena okugwaako ate nayagala okukyongezaayo,kkooti nakakiiko kebyokulonda kwekugaana.
Wabula omulamuzi Namanya akkiriza obukulembeze bwa UPC mu kiseera kino okugenda mu maaso n’okunsula abagala okweesimbawo ku bifo ebirala, okuli ababaka ba parliament ,ng’omusango omukulu bweguwulirwa.
Omwogezi wakakiiko kebyokulonda Julius Muchunguzi agambye nti ensala ya kkooti Eno, akakiiko kali kagyetegereza, oluvanyuma kategeeze bekikwatako.












