Omukiise mu lukiiko lwa Buganda era eyaliko Minister mu government eyawakati avunaanyizibwa ku nsonga z’abakyala Owek. Joyce Rovincer Mpanga avudde mu bulamu bw’ensi ku myaka 90 egy’obukulu.
Owek. Joyce Mpanga abadde mubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu lukiiko lwa Buganda okuva mu mwaka gwa 2009.
Yaliko omubaka wa parliament wakati wa 1996 – 2001 ng’akiikirira district ye Mubende.
Owek. Joyce Mpanga yaliko minister avunaanyizibwa ku nkulaakulana y’abakyala mu government eya wakati okuva mu mwaka gwa 1988 – 1989.
Yaliko minister omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako wakati wa 1989 – 1992.
Joyce Mpanga yazaalibwa nga 22 January,1933, naafa nga 18 November,2023.
Yasomera Gayaza Junior, Gayaza High, Makerere College, Makerere University (1953-1958), University of Indiana Bloomburg mu United States of America.
Owek.Joyce Mpanga ye maama w’Owek.David F.K Mpanga minister w’ebyettaka mu Buganda. #