Abadde omuteesiteesi omukulu mu wofiisi ya Ssaabaminister Keith Muhakanizi afudde.
Okusinziira ku mwogezi wa government Ofono Opondo, Muhakanizi afiiridde mu ddwaliro mu kibuga Milan ekya Italy gy’abadde yagenda okujanjabwa.
Muhakanizi yaliko omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga.#