Omulamuzi wa kooti ento e Kasaangati Beatrice Khainza asindise ku alimanda mu komera e Luzira, abaali abakulembeze b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga ekikulu Kampala okuli eyali Ssenkulu Dorothy Kisaka, omumyuka we Eng David Luyimbaazi ne Dr Daniel Okello eyali avunanyizibwa ku byobulamu mu KCCA mu okutuuka ng’ennaku z’omwezi 4 November,2024.
Omulamuzi Beatrice Khainza abasomedde emisango 57 omuli egy’okutta mu butali bugenderevu abantu 35 n’okulumya abalala 22 mu bitundu bye Kiteezi ,ekisangibwa mu Kasaangati town council mu district ye Wakiso ng’emisango gino kigambibwa baagizza wakati wa July 2020 ne August 2024.
Bano kigambibwa nti baalemwa okukozesa obuyinza bwabwe wabula nebagenda mu maaso n’okukozesa ekifo kye Kiteezi okukiyiwamu kasasiro awatali lukusa.
Baalemwa okuggala ekifo kino ekyali kifuuse ekyobulabe, okukirizanga abantu okusigala nga bayiwa kasasiro mukifo kino , okulemererwa okulabula abantu abaali mu kifo kino ku njega eyinza okubagwira , wamu n’okuleremererwa okusalawo okubaako kyebakola mu bwangu nga bamaze okufuna okulabulwa ku njega eyali eyolekedde okuggwawo, olw’entuumu ya kasasiro eyali akoze olusozi.
Wabula bano bonsatule emisango bajjegaanye.
Omulamuzi abasindise ku meere e Luzira okumala wiiki bbiri nga bakudda mu kooti ng’ennaku z’omwezi 4 November,2024 wadde nga bannamateeka babwe okubadde Fred Muwema ne Apollo Nelson Makubuya babadde basabye omulamuzi nti abantu babwe bateebwe ku kakalu ka kkooti olwembeera y’obulamu bwabwe, wabula omulamuzi ategeezeza nti baluddewo okusaayo empapula z’abantu ababadde balina okubeeyimirira
Bisakiddwa: Tonny Ngabo