Omuliro gukutte negusanyaawo ebintu bya buwumbi ku kkolero lya Kenswala factory e Walukuba mu Jinja city.
Omuliro guno gukutte ku ssaawa nga mwenda ogw’ekiro, wabula ekiguviiriddeko okwaka tekinategerekeka.
Omwogezi wa police owa Kiira region ASP Mubi James agambye nti wadde police enzinnya mwoto n’abakozi ku kkolero saako abadduukirize bagezezzaako okugulwanyisa, wabula gubadde mungi era ebintu ebiwerako nebisaanawo.
Ekkolero lino likola Butto, ssabuuni n’emisubbaawa era bingi bisirisse awamu ne offices.#