Omuzibizi wa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes, Kenneth Ssemakula, yegasse ku club ya Al Adalah egucangira mu liigi y’ekibinja eky’okubiri mu Saudi Arabia.
Kenneth Ssemakula bamuwadde endagaano ya myaka 2.
Avudde mu club ya Al Arabi eya Kuwait gy’abadde yegattako mu mwezi ogw’omusanvu omwaka guno 2025.
Ssemakula okugenda e Kuwait yava mu club Africain eya Tunisia, kyokka ne Kuwait tabandadeeyo kati agenze Saudi Arbaia.
Okugenda emitala wa mayanja yava mu club ya Villa Jogo Ssalongo gyeyaleka awangudde ekikopo kya liigi oluvanyuma lw’ebbanga lya myaka 20 nga ekikopo bakikonga lusu.
Uganda Cranes yakagizanyira emipiira 28 okuva lwe yatandika okugizanyira mu 2022.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












