Club ya KCCA egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, egyeyo omusango gw’ebadde yatwala mu kakiiko akatawulula enkayana mu by’emizannyo munsi yonna eka Court of Arbitration for Sports, mwebadde ewakanyiza okusalibwako obubonero.
FUFA yaggyako KCCA obubonero n’ebuwa club ya Mbarara City oluvanyuma lw’okukizuula nti KCCA yali ezannyisizza omuzannyi atakkirizibwa mu mateeka.
Omupiira guno gwazannyibwa nga 07 January,2025 e Mbarara.
KCCA omupiira ogwo yali eguwangudde goolo 2-0, kyokka oluvanyuma obuwanguzi bwawebwa Mbarara City olwa KCCA okuzannyisa Gavin Kizito Mugweri eyalina kaadi 3 eza kyenvu ez’omuddiriηηanwa.
Olw’obutamatira nansala eno, KCCA yaddukira mu kakiiko akatawulula enkayana mu byemizannyo munsi yonna.
Wabula kati KCCA yejjuludde omusango guno eguggyeyo, olw’okukeerewa okutuukiriza emitendera egimu, wadde ebadde yasasula empaabi yansimbi za dollar ya America eziwera 1000.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe