Kawempe Muslim SS esitukidde mu mpaka z’amasomero ga senior Secondary ez’omupiira ogw’ebigere ez’emizannyo gya Buganda, bwekubye Buddo SS goolo 5-3 eza peneti oluvanyuma lw’okulemagana goolo 1-1 mu ddakiika ezessalira.
Kawempe Muslim SS era yewangudde ekikopo ky’omupiira ogw’ebigere ogw’abawala, ekubye Uganda Martyrs High School Lubaga goolo 1-0.
Empaka zino zikomekerezeddwa ku ssomero lya Kawanda S.S
Minister w’ebyenjigiriza, office ya Nabagereka, abakyala n’ebyobulamu Owek Cotilida Nakate yakwasizza abawanguzi ebikopo n’emidaali, ng’abadde bumu ne minister w’ebyemizannyo abavubuka n’ebitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga n’olukiiko oluteesiteesi.
Buddo SS yewangudde ekikopo ky’okubaka, ekubye abategesi aba Kawanda SS ku bugoba 25 – 20.
Mu handball wa balenzi Wampewo Ntake yewangudde, ekubye Mbogo Mixed obugoba 25-15.
Handball w’Abawala Mbogo High yewangudde ekubye Kawanda SS obugoba 30-17.
Ku mutendera gwa primary St Noa Primary yewangudde mu mupiira gw’abalenzi ekubye Kampala Grammer Junior School goolo 5-4 eza peneti oluvanyuma lw’okugwa amaliri 0-0.
Owek Cotilida Nakate bwabadde akwasa abawanguzi ebikopo n’emidaali, akinoganyiza nti omwaka guno wabaddewo okugenda mu maaso buli kimu, era yebazizza amasomero gonna agetabye mu nteekateeka eno, era neyeyanza Omuteregga olw’enteekateeka zino ezisitula ebitone bya bavubuka mu Buganda.
Mun
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe