Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, agamba nti wasaanye okubaawo ennoongosereza ezikolebwa mu gamu ku mateeka agafuga parliament ya Uganda.
Agamba nti mu ndowooza ye, mu kulonda kwa bonna Omuntu abeera akutte ekifo ekyokubiri ku bwa president yasaanye okuba ng’akulira oludda oluvuganya government era nga ono asaanye agende butereevu mu parliament.
Katikkiro Mayiga abadde asisinkanyrme Emikutu gy’Obwakabaka egy’Amawulire mu wofiisi ye mu Bulange e Mengo, Kamalabyonna agambye nti ssinga omuntu abeera akutte ekifo ekyokubiri afuuka akulira Oludda Oluwabula government abantu ababeera bamwesize okumuwa akalulu babeera bakufuna obuweereza mu bwerufu.
Bino webijjidde nga banna Uganda bakyasobeddwa kyebazzaako ku kiteeso ky’Omubaka wa parliament akiikirira Mityana South Richard Lumu, eyaweereddwa olukusa olubaga ebbago ly’ ennongoosereza mu tteeka erirambika Akulira Oludda oluvuganya government.
Lumu ayagala ekibiina ekisinzizza ababaka abangi ku ludda oluvuganya, kiweereze amannya 3, olwo babaka bonna abali ku ludda oluvuganya government betabe mu kulondako abakulira bonna.
Katikkiro mungeri yeemu ategeezezza nti Uganda ekyafiirwa ensimbi nyingi nnyo mu babaka abasukkiridde Obungi, kyagambye nti kiviirako ensimbi y’Omuwi w’Omusolo okutokomoka.
Ebyo nga bikyaali awo Katikkiro asabye banna Uganda buli ggyo okuwa bannaabwe omukisa okwogera ebyo byebalowooza nti biyamba eggwanga okubeeramu emirembe.#