Katikkiro Charles Peter Mayiga awadde amagezi eri kkampuni za Yinsuwa mu ggwanga okwongera amaanyi mu kusomesa n’okubangula banna Uganda ku nkola n’emiganyulo gya Yinsuwa naddala mu kiseera ky’akatyabaga.
Mukuumaddamula abadde atongoza omusomo eri abakulembeze ku nkola ya Yinsuwa ya Tubeere Balamu, Obwakabaka mwebugenda okuyita okuyamba abantu ba Kabaka okufuna obuweereza bwa Yinsuwa ku by’obujjanjabi.
Mu nteekateeka eno Buganda eyolaganye ne Life Insurance Uganda.

Mu nteekateeka ya Tubeere balamu, Omuntu wa Kabaka waakusasulangayo ensimbi shs 198,000/= buli mwaka, ayanguyibwenga okufuna obujjanjabi ku ndwadde omuli omusujja, Typhoid n’okukaluubirizibwa mu kussa.
Akolanga Ssenkulu wa Jubilee Life Insurance Uganda, Eugine Mutekhele, agambye nti enteekateeka eno eruubirira okuyamba omuntu wa bulijjo naddala oyo akaluubirizibwa okufuna obujjanjabi obusaanidde.
Agambye nti batunuulidde okukwasizaako omuntu wa Kabaka mu mbeera ey’okuttunka n’ebisale by’eddwaliro ebigwa bitalaze, ate afune n’obuweereza bw’ebyobujjanjabi ebisaanidde.
Omukago guno ogwa Jubilee Insurance gukwanaganyizibwa Kabaka Foundation wamu ne Kampuni ya Buganda eya Yinsuwa eya Weerinde Brokerage Services Ltd.
Ebiwandiiko biraga nti banna Uganda emitwalo ataano gyokka bebettanira ebya Yinsuwa y’ebyobulamu, ate nga ne ku bano abasiinga obungi kkampuni zebakolera zezibasasulira enteekateeka eno.
Ebyo nga biri bityo, Aba Jubilee Insurance nabo baguze emijoozi gy’okuddukiramu emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egy’omwaka guno 2026.#
Bisakiddwa: Kamulegeya Achilleo K.













