Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atongozza Bboodi ya Radio CBS FM, Ssaabasajja gyeyasiima n’alonda eweereze emyaka esatu.
Katikkiro ba mmemba ba Bboodi abakuutidde okukola n’amaanyi okukuumira Radio ya Kabaka nga nnamba emu mu buweereza.
Abasabye okugizza obuggya nga baleeta ebirowoozo ebiggya eby’okugukuumira ku ntikko.
Abakalaatidde okulondoola abagiddukanya okukakasa nga byonna bitambulira ku makatala agaabaweebwa, omuli enkola ennuηamu mu kuyingiza abakozi, okubazimba n’enkola y’okubasiibula, okutuukiriza emisoso gya government naddala egy’okusasula emisolo n’ebirala.
Okukola amagoba n’okuganyula nnannyini yo ng’afunamu.
Katikkiro abategeezezza nti Ssaabasajja abalinamu essuubi ddene nnyo nti Radio ye egenda kusigala ku ntikko.
Ku lwa ssentebe wa Bboodi ne kulwa bammemba, Omumyuka wa Ssentebe, Solome Nassajje Luyombo yeeyanzizza nnyo Ssaabasajja okubalengera bamuweereze, neyeeyama nti baakuweereza n’amaanyi gaabwe gonna obutaswaza Kabaka nti era baakukola n’amaanyi okugattako aba bboodi enkadde webaakomye.
Bboodi eno ekulirwa Omuk. David Balaaka nga Ssentebe, omumyuka ye omukyala Solome Nnassejje Luyombo, Omuk. Michael Kawooya Mwebe muwandiisi era Ssenkulu wa CBS, ba mmemba kuliko Omuk. Fred Kiyimba Freeman, Owek. JW Katende, Omukyala Brenda Ssekabembe, Omuk. Benedicto Kiwanuka Bamweyana ne Omuk. Francisco Ssemwanga.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K