Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiha akubirizza abakozesa, okuwa abakozi Obudde bakole dduyiro,balwanyise endwadde
Abadde aggulawo ekifo awagenda okujjanjabirwa Endwadde ezitasiigibwa mu ddwaliro e Mengo.
Katikkiro agambye nti abaweereza obutakola dduyiro nebagejjjulukuka kivuddeko Endwadde nga ssukaali,Omugejjo ne Entunnunsi /puleesa n’endala okubeesibako, nebalemwa okuweereza obulungi.
Katikkiro alabudde bannansi ku kulya okuyitiridde n’Okunywa Omwenge okweyongera buli olukya, nga kino akiyise kweragajjalira.
Era asinzidde awo naasaba abantu okukomya kwejjanjabira ku mitimbagano,nagamba nti obubaka bw’ebyobulamu obussibwa ku mutimbagano tebukola ku buli muntu, nga n’olwekyo balina okugenda mu basawo abakugu basooke babeekebejje.
Dr Simon Peter Nsingo nga yaakulira eddwaliro lye Mengo, agambye nti mu myaka 128 eddwaliro lyegimaze nga lijjanjaba Endwadde ezenjawulo, okubalukawo kwendwadde ezitasiigibwa kweyongedde nnyo mu Bantu, nga kusinze kuva ku Ndya mbi.
Dr Nsingo naye asabye abalwadde b’endwadde ezitasiigibwa okukomya okweragajjalira, bakozese eddagala ettuufu n’Okwebuuza ku bakugu.
Dr Lumu William nga yaakulira ekifo awagenda okujjanjabirwa nÓkwekeneenyezebwa Endwadde ezitasiigibwa, alabudde ku bulabe obuli mu buteekebeza ndwadde nga bukyali.
Dr James Ocakachon ku lwa ministry y’Ebyobulamu, era nga mukugu mu kujjanjaba Endwadde ezitasiigibwa,agambye nti Endwadde ezo zeyongedde nnyo , ng’abantu 70% tebamanyi nti Balina puleesa.
Abantu 80% tebalya bibala bibayambako kulwanyisa ndwadde, songa nÁbanywa ssukaali omungi n’Omunnyo omubisi ebyobulabe bangi ddala.
Bisakiddwa: Kato Denis












