Ebitongole ne kampuni za government eziwera 9 ziddukanyizibwa mu kufiirizibwa wadde nga government ezisaamu obuwanana bw’ensimbi.
Okusinziira ku Ssaabalondoozi w’ebitabo bya government eyekenneenyezza ebitongole 23, ebitongole 14 byokka byebiriko amagoba gebikola ebitongole 9 bbyo bikolera mu loosi oba okufiirizibwa
Ebitongole ebikolera mu kifiirizibwa nga tebirina magoba gebikola kuliko kampuni y’eggwanga ey’ennyonyi eya Uganda National Airlines nga yakola loosi ya buwumbi 325 mu mwaka gw’ebyensimbi 2022/2023
Loosi Uganda Airline gyeyakola mu mwaka ogwo 2022/2023 yali waggulu ogugerageranya ne loosi ey’obuwumbi 265 bweyakola mu mwaka gw’ebyensimbi 2020/2021
Okuva kampuni eno lweyazzibwawo mu mwaka gwa 2018, tekolanga ku magoba okugyako okutambulira mu kufiirizibwa, wadde government egiteekamu obuwanana bw’ensimbi okutambuza emirimu.
Kampuni za government endala ezitakola magoba kuliko Nile Hotel emanyiddwanga Serena nga mu bitabo bya government emanyiddwanga Nile Hotel , NEC Uzima Limited ,NEC Katonga, Soroti Fruit factory ,Uganda air Cargo , Uganda electricity Distribution Company Limited nebirala
Wabula waliwo kampuni oba ebitongole ebikola amagoba okuli Uganda Electricity Transmission Company Limited kino nga kyekitambuza amasanyalaze , Uganda Civil Aviation Authority ekivunanyizibwa ku ntambula z’ennyonyi ,National Housing Corporation company ,Uganda electricity Generation Company ekisunda amasanyalaze, saako National water and Sewerage Corporation ekivunanyizibwa ku mazzi , Post bank ne Housing Finance Bank.
Ssaabalondoozi w’ebitabo bya government John Muwanga wabula agambye nti yadde kampuni za governmeny ezimu zikola amagoba, kampuni emu yokka eya Housing Finance Bank yeewa government ettunduttundu ku magoba ago agamanyiddwanga dividends , ebitongole ebirala tebizaayo magoba eri government.#