Ekitongole ekikulembera ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority kyongedde okulabula abakulembeze mu butale mu Kampala okuviira ddala ku by’okusolooza ku basubuuzi empooza okutuusa ng’etteeka erinaalambika enzirukanya y’obutale liyisiddwa.
Okuva president Museveni lweyayingira mu nsonga z’obutale n’ayimiriza okusolooza empooza, abakulira obutale baatandikirawo okwemulugunya ku kiragiro kino kubanga bingi ebitasobola kutuukirizibwa awatali mpooza.
Bano bagamba nti ebintu ng’ebyobuyonjo mu butale, ebyokwerinda n’ebiralala KCCA tebifaako songa byebimu empooza by’erabirira. Mu lukiko olutudde ku City Hall mu Kampala olwetabiddwamu ba Ssentebe b’obutale n’abamu ku bakulembeze mu KCCA , ba Ssentebe basabye ekitongole kibakkirize okusolooza empooza entonotono okulaba nga bayimirizaawo obutale , KCCA kyeyaganye.Omwogezi wa KCCA Juliet Bukirwa asabye ba ssentebe mu butale ababade ba kyaasolooza empooza okukikomya bunnambiro okutukanga balambikiddwa.