Kyadaaki omuteebi wa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes, Jude Ssemugabi, ayanjuliddwa abawagizi ba club ya Jumas FC egucangira mu liigi ya babinywera eya South Sudan.
Jude Ssemugabi ayanjuddwa mu kisaawe kya Juba National Stadium.
Jude Ssemugabi mu kusooka yali wakwegatta ku club eno mu June 2025, kyokka naasaba club eno okusooka okumuwa akadde okuzannya mu mpaka za CHAN.
Kati kyadaaki yegasse ku club ya Jumas FC ng’ava mu club ya Kitara eya Uganda Premier League.
Club za Uganda okuli KCCA ne Vipers nazo zaali zegwanyiza okukansa omuteebi ono.
Jude Ssemugabi yabadde n’omutindo omulungi ddala mu mpaka za CHAN ne World Cup Qualifiers ku ttiimu ya Uganda Cranes
Ettuttumu yalifunira mu mpaka za Masaza ga Buganda, era yali azannyira ttiimu y’essaza Ssingo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












