Kooti ejulirwamu ekakasizza obuwanguzi bw’ababaka ba parliament bannakibiina kya NUP okuli owa Nakawa West mu Kampala Joel Ssenyonyi n’ow’essaza Bbaale mu district ye Kayunga Charles Tebandeke.
Abalamuzi okuli Geoffrey Kiryabwire , Christopher Gashirabakande ne Steven Musota bategezezza nti Mukesh Shukula Mabubai eyawaabira Ssenyonyi nti omusango yaguteekayo kikeerezi, so ng’era bingi byeyerabira okuteeka ku mpaaba ye ey’okujulira omuli n’okuba nti teyassaako nnaku za mwezi.
Kooti bwetyo negoba okujulira okwo, nekakasa Joel Ssenyonyi ku buwanguzi obwo.
Eragidde Mukeshi okuliyirira Ssennyonyi sente zonna zaasaasaanyirizza mu misango gyombi ogwasooka mu kooti enkulu neeno ejulirwamu.
Mukeshi alumiriza Ssennyonyi nti talina buyigirize bumala kubeera mubaka wa parliament.
Mu ngeri yeemu, ye munna NRM Ronald Mukasa Maiteki yabiggyamu enta omusango n’aguvaako mweyali avunaanira Charles Tebandeke owa Bbaale mu Kayunga okugulirira abalonzi n’okubba obululu.
Abalamuzi ba kooti ejulirwamu okuli Richard Buteera, Catherine Bamugemereire ne Hellen Obura basazeewo okuggalawo omusango oluvannyuma lwa munnamateeka wa Ronald Mukasa Maitek okubategeeza ni omuntu we omusango yaguggyamu enta.
Omubaka Tebandeke asanyukidde ekyasaliddwawo Maitek ,n’asuubiza n’okumusonyiwa sente zonna kooti enkulu zeyali emulagidde okumuliyirira.