Akakiiko ke byokulonda mu kibiina kya JEEMA katandiise okukwata empapula z’abegwanyiza obwa President bw’ekibiina kino ,oluvanyuma lwekisanja ky’obukulembeze obubadde bukulemberwa Asuman Basalirwa okugwako.
Mubakateekayo okusaba kwabwe mu kakiiko kano.; y’abadde omwogezi w’ekibiina kino Abdulnoor Kyamundu Ssentongo, saako Asuman Basalirwa eyategeeza edda nti Entebbe akyajetaaga.
Abdnoor Kyamundu mukwogerako ne banna mawulire agambye nti ekimuleese okuvuganya ku ntebe y’obukulembeze bw’ekibiina kwekubanga ekibiina kyabwe ebintu kibikola kasoobo, ate nga ebigendererwa ebyakitandisa kwekutwala Entebbe y’obukulembeze bw’eggwanga
Kyamundu agambye nti ekibiina kyabwe kibadde kizze nyo emabega mu byobufuzi bye ggwanga nga kati kyekiseera ekibiina kirage eggwanga nti kisobola okukwata obuyinza
Ekibiina kya JEEMA kyakulemberwako Muhammed Kibirige , Kyanjo ne Asuman Basaalirwa aliko era ng’asuubirwa okuddamu okuvuganya ku kifo kye Kimu.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif