Abaddusi bannayuganda Jacob Kiplimo ne Joshua Cheptegei, bongedde okulaga eryanyi mu muzannyo gw’emisinde mu nsi yonna, basitukidde mu mpaka za United Airlines New York Half Marathon.
Jacob Kiplimo awangudde omudaali gwa zzaabu n’edollah za America emitwalo ebiri bwe bukadde nga 73 obwa shs za Uganda, ng’agiddukidde esaawa 01:01:31.
Mungeri yeemu Joshua Cheptegei akutte ekifo kyakubiri n’awangula omudaali gwa feeza n’omutwalo gumu ogwa dollah bwebukadde bwa shs nga 38, emisinde agiddukidde essaawa 01:02:09.
Emisinde gino gibadde gya mulundi gwa 16 nga gitegekebwa, era gye gimu ku misinde egisinga obuganzi mu America.
Jacob Kiplimo yazze mu misinde gino nga yalina record ennungi mu misinde gino egya Half Marathon, eyeddakiika 57:31 gye yatekerawo mu kibuga Lisbon e Portugal.
Mungeri yeemu Jacob Kiplimo abadde yakamala okuwangula mpaka za World Cross Country Championships ezaali mu Australia.
Mu misinde egyo Jacob Kiplimo yawangula omudaali gwa zaabu ate Joshua Cheptegei nawangula omudaali gwa feeza.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe