Munnauganda omuddusi ku mutendera gw’ensi yonna Jacob Kiplimo, ataddewo record empya eya Uganda, mu misinde gya London Marathon gyadduse olwaleero nga 27 April,2025.
Mu misinde gino Jacob Kiplimo akutte ekifo kyakubiri, nga agiddukidde essaawa 2 n’edakiika 03 ne seconds 37.
Jacob Kiplimo avuganyizza mu misinde gya Marathon omulundi gwe ogusookedde ddala, era ataddewo record ya Uganda empya esinga obulungi mu misinde gino.
Record ebaddewo ya ssaawa 2 n’edakiika 04 ne seconds 47 eyatekebwawo Stephanie Kissa mu 2022 Hamburg Marathon.
Mungeri yeemu mu misinde gya London Marathon ku ludda lw’abakazi, munnauganda Stella Chesang akutte ekifo kya mukaaga, nga emisinde gino agiddukidde essaawa 2 n’edakiika 22 ne seconds 42.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe