Omuddusi ku mutendera gw’ensi yonna munnauganda Jacob Kiplimo, akoze ekyafaayo, ataddewo record empya mu misinde gya kilo mita 21 egya Half Marathon egibadde mu kibuga Barcelona e Spain.
Emisinde gino Jacob Kiplimo agiddukidde eddikiika 56 n’obusikonda 38.
Record eno agitaddewo omulundi ogw’okubiri, nga yasooka kugiteekawo mu Lisbon Half Marathon mu 2021, yali ya dakiika 57 n’obusikonda 31.
Jacob Kiplimo yatandika okudduka emisinde gya kilo mita 21 mu 2019, era yaziwangula omwaka ogwo.
Kati emyaka 5 egiyiseewo ng’avuganyizza mu misinde gya Half Marathon gya mulundi 8, nawangulako emisinde gya mirundi 6 okuli ne World Half Marathon egya 2020 e Poland.
Jacob Kiplimo kati obwanga agenda ku bwolekeza empaka mubuna byalo egya Marathon, gy’egenda okwetabamu omulundi ogusooka nga 27 April,2025 mu kibuga London ekya Bungereza.
Omuddusi omulala Joshua Cheptegei naye obwanga yabwolekeza mpaka za Marathon, nga kati egenda kuvuganya mu mpaka za Marathon ezigenda okubeera e Tokyo Japan nga 02 March,2025.
Joshua Cheptegei empaka za Marathon agenda kuzetabamu omulundi ogw’okubiri.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe