Olukiiko lwa Bassaabawandiisi b’ebibiina byobufuzi ebirina ababaka mu parliament ogwa Inter Party Organization for Dialogue IPOD baliko ebirowoozo byebatutte eri akakiiko k’ebyokulonda, nga bagala wabeewo ebikyuusibwa mu mateeka agafuga ebyokulonda.
Nga bakulembeddwamu Ssaabawandiisi Justice Forum Uganda Jeema ,Hajji Mohammed Kateregga, ebirowoozo byebatutte mu kakiiko k’ebyokulonda kuliko okuggya amaggye mu kalulu watondebwewo police ekola ku byokulonda, ng’akakiiko kebyokulonda kekavunaanyizibwa ku Police eyo.
Bagala era wabeerewo okulungamya ensaasaanya y’ensimbi mu kalulu, akakiiko k’ebyokulonda kateekawo omuwendo ogw’essalira ogw’ensimbi, abantu abeesimbyeewo zebalina okusaasanya mu kalulu okukendeeza omuze gw’okugulirira abalonzi.
Hajji Mohammed Kateregga agambye nti bannabyabufuzi okusaasaanya obutitimbe bw’ensimbi mu kalulu, kiwakiriza abawangudde okukozesa obubi wofiisi ezo okuggyayo ensimbi zebasaasaanya mu kugulirira abalonzi.
Ba Ssaabawandiisi b’ebibiina bino mu mukago gwa IPOD era bagala akakiiko k’ebyokulonda kagabanye kyenkanyi eri ebibiinabyonna, ensimbi government zeewa ebibiina byobufuzi.
Mu kiseera kino, akakiiko kebyokulonda kagabira ebibiina byobufuzi ensimbi ezo, okusinziira ku muwendo gwababaka ebibiina byebalina mu parliament.
Mu kisanja kino NRM ne NUP byebisinga okufuna ensimbi ennyingi, ku buwumbi 45 buli mwaka gw’ebyensimbi government zeewa ebibiina byobufuzi.
Ku nsonga y’omudidi gw’ensimbi eziyiibwa mu kalulu, kitegerekese nti ku Tuesday nga 30 July,2024 akakiiko k’ebyokulonda kategese ensisinkano eyenjawulo eya buli akwatibwako, okukubaganya ebirowoozo ku nsonga eno.
Ku nsonga y’amagye okuva mu byokulonda, akakiiko k’ebyokulonda kaasabye ebibiina byobufuzi bebamu bakiwomemu omutwe, okusaba parliament okukola ennongosereza mu mateeka ago, amagye gave mu kulonda kubanga akakiiko kebyokulonda emikono gyako misibe ku nsonga eno.
Bino bijjidde mu kiseera nga commissoner wa parliament Owek.Mathias Mpuuga Nsamba, aliko ennoongosereza naye zeyabaga ezetaagibwa okukolebwa mu kulonda kwa bonna, era ng’ayagala ekkomo ku bisanja bya president bizzibwe mu ssemateeka w’eggwanga.#