Nga Uganda eyolekera akalulu k’omwaka 2026, eyali omubaka wa Makindye East Ibrahim Kasozi Biribawa alangiridde mu bitongole nti agenda kwesimbawo okuvuganya ku kifo kya Lord Mayor w’ekibuga Kampala.
Alaangiriridde mu muluka gw’e Kibuli mu nsisinkano n’abatuuze baayo, naagamba nti ebyokuddamu oluvuganya ku kifo kyobubaka bwa parliament abitadde, kagende ku ntebbe ennene eya Lord Mayor abeeko byatereeza mu ntambuza yemirimu mu kibuga ,bannakampala bafune obuweereza obumatiza
Werutuukidde olwaleero ng’abantu abawerako okuli Omuloodi Mayor w’ekibuga Ssaalongo Elias Lukwago ,omubaka wa Nakawa East Nsubuga Balimwezo nabalala baalangirira dda nti ekifo kyobwa LordMayor bakyetaaga.