Banna byamizannyo abegattira mu kibiina kya Real Stars Sports Agency, balonze omuteebi wa ttiimu y’essaza Buweekula mu mpaka za Masaza ga Buganda, era omuteebi wa club ya Wakiso Giants eya Uganda Premier League, Herbert Asiimwe asinze banne okucanga endiba omwezi oguwedde ogwa September,2024
Herbert Asiimwe bamuwadde engule olw’omutindo, gwe yayoleseza mu Uganda Premier League, nga yatebera Wakiso Giants goolo 3 mu mipiira 3, nga yateeba club ya Bright Stars, Maroons ne Mbale Heroes.
Asiimwe okutuuka ku buwanguzi amezze banne okubadde Said Mayanja owa club ya KCCA ne Enock Ssebaggala owa club ya NEC.
Mu mizannyo emirala, Herbert Matovu yawangudde engule eno, nga amezze Owen Kibira ne Ukasha Matovu.
Isaac Ariho owa Uganda Prisons yawangudde mu muzannyo gwa Woodball, nga amezze Alfred Nsibimana ne Joyce Nalubega.
Mungeri yeemu banna byamizannyo bano basiimye eyali omuvuzi w’emotoka z’empaka nakinku, kati omugenzi Charles Muhangi olw’emirimu amakula gye yakolera omuzannyo guno, era engule ye ekwasiidwa mukyalawe Patience Muhangi Mbabazi.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe