Eyaliko Omubaka wa parliament owa Makindye, era yaliko President w’e Kibiina Kya Justice Forum JEEMA Haji Husein Kyanjo afudde.
President wa Justice Forum era Omubaka wa Bugiri municipality Asuman Basaalirwa agambye nti Kyanjo afiiridde mu ddwaliro e Kibuli nga 22 July,2023.
Basaalirwa agambye nti eggwanga lifiiriddwa Omuntu abadde omulwanirizi w’emirembe, enkulaakulana n’obwenkanya.
Haji Husein Kyanjo yakeberebwa mu ddwaliro erya Iranian Hospital mu Kibuga Dubai abasawo nebamutegeeza nti yaweebwa obutwa obwamuviirako okufuna kookolo.
Wafiiridde ng’abadde akozesa byuma ebimuyambako okwogera.
Haji Husein Kyanjo abadde munabyabufuzi avumirira ennyo omulugube , enkwe n’obunanfuusi mubanabyabufuzi.
Agenda kusaalirwa ku muzikiti e Kibuli n’oluvannyuma aziikibwe ku Sunday nga 23 July,2023 ku kyalo Ntuuma mu district ye Bukomansimbi.#