Government eteekateeka okusaasaanya ensimni trillion 9 n’obuwumbi 245 mu mbalirira y’omwaka ogujja 2025/2026, okusasula amagoba ku mabanja gezze yewola emyaka egiyise.
Omuwendo guno guli mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi ogujjya 2025/2026, eyayanjuliddwa parliament eweza trillion 57 n’obuwumbi 441
Embalirira Eno yasaliddwako trillion 14 okuva ku trillion 72 n’obuwumbi 136 okukka ku trilkon 57 n’obuwumbi 441.
Ku trillion 9 n’obuwumbi 245 ez’ okusasula ku magoba ku mabanja, kuliko trillion 7 nobuwumbi 643 zigenda kusasula amagoba ku mabanja agazze gewolebwa munda mu Uganda, okuva mu banks ,nebitongole ebirala nga Nssf n’ebirala
Songa trillion 1 nobuwumbi 603 zigenda kusasula amagoba ku mabanja governent zeyeewola ebweru w’eggwanga
Trillion Zino 9 zakusasula magoba ku mabanja wabula tekuliiko kusasula ku bbanja lyennyini.
June w’omwaka 2024 weyagweerako, government egamba nti Uganda yali ebanjibwa trillion 94 n’obuwumbi 900
Mu bbanga lyamyaka 11 Okuva mu gw’ebyensimbi 2008/2009 okutuuka mu mwaka gweby’ensimbi 2024/2025 Uganda yewoze trillion 43 n’obuwumbi 252, wabula government egamba nti trillion 16 zikyatudde ku accounts z’ebitongole tezinasaasaanyizibwa.
Parliament okutandiika ne January 2025, yakutandika okwekeneenya embalirira eno mu butongole ngeyita mu bukiiko bwayo.#