Government eteekateeka okwewola obukadde bwa ddoola za America 190, mu shilling ya Uganda bwe buwumbi nga 696 okuva mu Stanbic Bank, esobole okusasula kampuni ya UMEME.
Endagaano ya UMEME gyeyakola ne government ya Uganda ey’emyaka 20, nga UMEME yeetambuza n’okuddukanya eby’amasanyalaze mu ggwanga, eggwako omwezi ogujja ogwa March,2025.
Obuvunaanyizibwa n’emirimu gyonna gigenda kudda mu kampuni eya Uganda electricity Distribution Company Limited.
Wabula mu ndagaano government ya Uganda gyeyakola ye UMEME mu mwaka gwa 2005, contract eno bwenaaba eweddeko, government erina ensimbi zeerina okugisasula, olw’ebintu byayo byegenda okweddiza n’ensimbi kampuni ezo zeesize mu masanyalaze.
Ensimbi ezo government zenoonya!.
Okusinziira ku biwandiiko government byetutte mu parliament, biraga nti government eyagala kwewola ensimbi obuwumbi 696 okuva mu Stanbic bank eya Uganda mu nkola emanyiddwanga Domestic Borrowing, ezisasule UMEME.
Okusaba kuno kussiddwa mu lukangagga lw’ebiteeso parliament byegenda okukubaganyaako ebirowoozo olwaleero nga 18 February,2025, government byegenda okwanjulira parliament ng’eyita mu ministry y’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga.
Endagaano eraga nti UMEME erina okusasulwa ensimbi zino mu mwezi gwennyini endagaano lwegwako, nga singa zisukkawo, Uganda ebeera eteekeddwa okusasula engassi.#