Government ya Uganda erangiridde nti etandise ku nteekateeka z`okusala emiwendo gyamasimu ga Smartphone (sseereza) n’eya Internet (obusanganda).
Minister w’amawuliire n`okuluηamya eggwanga Dr. Chris Baryomunsi abadde ku Media Centre mu Kampala nategeeza nti mu bbanga lya myaka ebiri okuva kati, government eyagala okuba ng`essimu ya Smart phone esokerwako egula wakiri Shillings za Uganda emitwalo 40,000/=. kisobozese bannauganda abawera okubeera n’essimu, okukolerako emirimu egy’enjawulo, n’okulwanyisa ebbula ly’emirimu mu ggwanga.
Dr. Chris Baryomunsi agambye nti eno y’emu ku nteekateeka ekwebaasinziira okutegeka olukuηaana lw’amawanga ga Africa ne Buwalabu, olugenderera okukubaganya ebirowoozo ku ngeri gyegasobola okwongera okutumbula enkozesa za internet.
Olukuηaana luno olutumiddwa Middle East And Africa Digital Transformation Summit, lugenda kubeerawo okuva nga 25th okutuuka nga 27th June,2025.
Baryomunsi agambye nti government ya Uganda erina WiFi ez`obwerere zeyabunyisa mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, wabula nga teziberako buli kadde, naye nategeeza nti agenda kulagira ekitongole kya NITA U kifulumye ekiwandiiko ekiraga ebifo byona mu ggwanga ebirimu Wifi ey`obwereere, abantu abawera basobole okujiganyulwamu.
Olukuηaana luno olwa Middle East And Africa Digital Transformation Summit, gugenda kubeera ogusookedde ddal Uganda okulutegeka, era ng`esuubira okwongera okulweyambisa okufuna amagezi kungeri y`okutandikawo emirimu nga yeyambisa enkola eza digital.
Lutegekeddwa Minister y’ebyempuliziganya ne technology , wamu ne n’ekitongole ki Hi Pipo.
Innocent KawoOya okuva MU Hi Pipo agamba nti olukuηaana luno Uganda yakuluganyulwamu.
Bisakiddwa: Musisi John