Ministry y’eby’obulamu kyadaaki evuddemu omwasi ku kusoomoozebwa kw’abantu abawangaala naakawuka ka Mukenenya olw’ebbula ly’eddagala eriweweeza ku kawuka kano.
Waliwo ebyatandise okuyitingana nti eddagala lya Mukenenya eriweebwa abantu, nti abamu ku bagagga batandise okuligula okulyeterekera, ekireesewo okutya eri abantu abalala abaabulijjo abeetaga eddagala lino.
Kigambibwa nti oluvanyuma lw’ekiragiro kys president wa America, John Donald Trump okusala obuyambi ku mawanga amalala, kyekisinze okusattiza abantu abamu n’okwagala okwetegekera embeera eyoomumaaso, singa eddagala eriweweeza akawuka lyongeera okukeewa.
Ministry y’eby’obulamu bulijjo eragira abantu abali ku ddagala okugenda bafune eddagala mu bungiko okwewala okugenda mu malwaliro buli kaseera, era bulijjo bafuna eddagala lya myezi 3, wabula werutuukidde leero nga kati eddagala bafuna lya wiiki 2 zokka, ekireesewo akasattiro n’okweralikirira ku bungi bweddagala obusigaddeyo mu malwaliro.
Wabula akulira ebyobujjanjabi eby’ekikugu mu ministry y’ebyobulamu Dr Charles Olaro, agambye nti government ekyalina eddagala eriweweeza ku kawuka erimala, era nti bakwongera okulibunyisa mu bitundu eby’enjawulo.
Mu kiwandiiko kyataddeko omukono, Dr Olaro agambye nti ekitongole okuli ekya Joint Medical Stores ne National Medical Stores, bakwongera okubunyisa eddagala mu malwaliro agasoba mu 2,000 buli luvanyuma lwa myezi 2.
Agambye nti abeetaga eddagala lino bagenda mu malwaliro ago balifune ate ku bwerere.
Dr Olaro agambye nti wadde obuyambi okuyitira mu kitongole ki USAID bwasalibwa, ebyokuguza Uganda n’okujiwa eddagala bikyaliwo era bitambula bulungi, naamakolero gaakuno agakola eddagala lya Mukenenya gakyafulumya eddagala eryokuwa abantu.
Ministry era ewakanyizza ebigambibwa nti waliwo abagagga abagulirira amalwaliro nebatwala eddagala, ekiviirako abanaku okubonabona.
Bisakiddwa: Ddungu Davis