Emmotoka za Government eziwerera ddala 2082 zezaakateekebwaako namba plates endigito mu nteekateeka government gyeriko eyokulaba nti buli kidduka kiteekebwako namba plates endigito okunyweeza ebyokwerinda.
Ebibalo bino ebitonotono ebikwaata ku nteekateeka ey’omutendera ogusook eyokuteeka namba plates endigito ku bidduka, bifulumiziddwa ministry y’ebyentambula.
Government erina emmotoka ezisoba mu mitwalo 100,000 mu ministries, government ez@ebitundu n’ebitongole byalyo ebitali bimu.
Ministry yebyentambula nenguudo era erangiridde nti pikipiki 7824 zezaassibwako namba plates endigito ennaku z’omwezi 18 December,2024 wezaatuukidde.
Ministry erangiridde nti ng’ennaku z’omwezi 6 January omwaka ogujja 2025, lwetandiika okuteeka namba plates endigito ku mmotoka z’obwannanyini mu nteekateeka eyokusatu
Government kinnajjukirwa nti yakola endagaano ne kampuni ya Russia eya Ms Joint Stock Company global security okukola n’okussa namba plates endigito ku bidduka byonna mu ggwanga okunyweeza ebyokwerinda, nga birondoolwa wonna webiraga.
Namba plates endigito zino zirimu tekinologiya owa Intelligent Transport Management system asobozesa government nabebyokwerinda okulondoola ebidduka ebyo yonna gyebiri.
Namba plates endigito zino ku bidduka ebippya ebiva mu bibanda byemmotoka zakugulibwa shillings 714,300 songa emmotoka ezaafuluma edda zakusasula shillings 150,000 olwo bodoboda zisadule shillings 50,000 buli emu.#