Embalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2022/2023 ya trillion 47, okuva mu trillion 44 n’obuwumbi 700 ey’omwaka guno ogugenda mu maaso 2021/2022.
Entebereza y’embalirira eno eyanjuddwa minister omubeezi owebyensimbi Amos Lugoloobi, ng’emiwendo gino parliament gyegenda okusiinzirako okutematema embalirira y’eggwanga.
Minister Lugoloobi anyonyodde nti enteekateeka eziwerako government zegenda okusaako essira, mulimu okuzimba omuddumu gw’amafuta neddongosezo lyago.
Bino byebireetedde embalirira eno okulinnya okutuuka ku trillion 47, bwogerageranya néyomwaka guno gwetulimu ogugenda mu maaso eya 44 n’obuwumbi 700.
Minister Lugoloobi agambye nti omwaka guno tewagenda kusibwawo misolo mirala, okugyako okutereezaamu kwegyo egibaddewo, okuggya emiwaaatwa abantu mwebayita okugyepena
Minister Lugoloobi era abikkudde ekyama nti enteekateeka zókuggya abantu mu bwavu muteereddwamu trillion emu nómusobyo omuli eya parish development model.
Minister bwabuuziddwa government gyegenda okuggya ensimbi eziwanirira embalirira eno, ng’emisolo agambye tegigenda kwongezebwa, anyonyodde nti bagenda kwongera okwewola omwaka ogujja 2022/2023 okuziba emiwaatwa gy’ensimbi.
Ensimbi trillion 25 government zeteeseteese okuku𝝶aanya okuva mu misolo,wabula olwo ettunduttundu erisigaddewo lya trillion 22 eryembalirira eya trillion 47, zakwewolebwa mpozzi nézinaava mu bagabi bóbuyambi.
Werutuukidde olwaleero ebintu okuli amafuta, sabuuni, sukaali, omunnyo nebirala abantu byebakozesa mu bulamu obwabulijjo byalinnya ebbeyi tebikyagulikako, nga waliwo nebannansi abaali basabye government ekendeeze ku misolo nti oba oli awo ebbeeyi yaabyo enaakenderako.
Wabula bano minister Lugoloobi abajjukiza nti kikafuuwe government okukendeeza omusolo, naagamba nti okukendeeza emisolo tewali bukakafu bukkaatiriza nti kinaakendeeza ebbeeyi y’ebintu
Henry Musaasizi minister omubeezi owebyensimbi, ye agambye nti ezimu ku nnongosereza mu misolo egireeteddwa, zezikwata ku nguudo nébyentambula, n’emmotoka enkadde ezirina okukkirizibwa okuyingira eggwanga.
Annyonnyodde nti etteeka eryaayisibwa nti emmotoka enkadde ezisuka emyaka 15 tezirina kuyingira mu ggwanga, government eyagala kulu𝝶amya kika kyammotoka ezigwa mu ttuluba eryo ezaawerebwa.