Government ya Uganda nate ezeeyo mu parliament egisabye ekkirize ebbibiro ly’amasannyalaze erya Bujagaali hydro power project lisoonyiyibwe omusolo okumala emyaka emirala 5.
Ekisonyiwo kino kyakukoma mu mwaka gwa June 2032 nti n’ekigendererwa ekyokukendeeza ku bbeeyi y’amasanyalaze.
Government okusaba kuno ekuyisizza mu nnoongosereza zekoze mu tteeka lya income tax ,erirambika ensolooza y’omusolo okuva ku nnyingiza y’ensimbi eri omuntu kinnoomu oba kampuni.
Government emyaka egiyise era ezze eyita mu tteeka lyerimu okusonyiwa Bujagaali Hydro Power project emisolo.
Mu nnongosereza endala government zeyagala zikolwe mu tteeka ly’omusolo guno ogwa income tax ,kwekusonyiwa bamusiga nsimbi abatandiikawo kampuni eziweza obukadde 500, zisonyiyibwe omusolo gwa income tax okumala emyaka 3.
Government era eyanjudde ennongosereza mu mateeka agenjawulo agaluηamya eby’emisolo mu ggwanga ,nga gino mwesuubira okusinziira okuwanirira embalirira y’eggwanga ey’omwaka ogujja 2025/2026 eweza trillion 72.#