Ministry yeby`obulamu mu Uganda erangiridde omutendera ogw`okubiri ogw’okugabirako obutimba bw’ensiri obw’obwereere mu mwaka guno 2026, ng`omu ku kawefube gwebaliko ow`okulwanyisa omusujja gw’ensiri mu ggwanga.
Commissioner avunanyizibwa ku kutumbula eby`obulamu n`okuziyiza endwadde mu ministry yeby`obulamu Dr Richard Kabanda, yalangiridde omutendera guno ogw`okubbiri ng’asinziira ku Uganda Media Centre mu Kampala.
Dr.Kabanda ategezezza nti omutendera ogwasooka gwabaddewo mu January w`omwaka guno 2026, mwebaagabidde obutimba mu district 20.
Agambye nti ku mutendera ogw`okubiri bagenda kugaba obutimba mu district 32.
Agambye nti waliwo ne district 17 mwebatagenda kugaba butimba, ng`eno bagenda kukozesaayo enkola endala ez’okulwanyisa omusujja gwensiri.
Government era erabudde abantu abagenda okuwebwa obutimba, obutetantala kubweyambisa mu kukwata ebyenyanja, okubulundisa enkoko, okubukozesa ng`ebikomera, nebintu ebirala ebiweebuula ekitiibwa ky`obutimba buno.
Abantu abagenda okuwebwa obutimba era basabiddwa okusooka okubaako webabwanikaako nga tebanatandiika kubusulamu.
Bisakiddwa: Musisi John













