Amasaza Gomba ne Bulemeezi gesozze oluzannya olwakamalirizo olw’empaka z’amasaza ga Buganda 2023.
Gomba okwesogga fayinolo eggyemu Buddu ku mugatte gwa ggolo 3-1, nga oguzanyiddwa olwa leero, Gomba eguwangudde ku ggolo 1-0, eteebeddwa omuzannyi Kenneth Kimera.
Gomba eyiseewo ku mugatte gwa goolo 3-1, nga oluzannya olwasooka e Kabulasoke Gomba yawangula goolo 2-1
Ate Bulemeezi egyemu Mawokota ku ggolo 4-2 ezibadde eza penati, oluvanyuma lw’eddakiika 90 okugwako nga tewali alengedde katimba ka munne.
Mugwasooka Bulemeezi ne Mawokota balemagana ku ggolo 1-1.
Gomba yakawangula ekikopo kino emirundi 5, ate Bulemeezi emirundi 2.
Oluzannya lwa final wakati wa Bulemeezi nga ettunka ne Gomba lujja kuberawo nga 28 omwezi guno ogwa October mu kisaawe e Wankulukuku.
Wajja kusokawo omupiira ogw’okulwanira ekifo eky’okusatu wakati wa Mawokota ne Buddu.
Munnabuddu era Mukwenda eyawummula Ssalongo Godfrey Mbalire, agumizza Bannabuddu nti ebitagenze bulungi omwaka guno bagenda kubitereeza ate bakomewo n’amaanyi omwaka ogujja 2024.#