Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA kirangiridde mu butongole nti kigenda kufuula ekifo kya FUFA Technical Center e Njeru, ebbanguliro erisomesa banna byamizannyo okufuna obukugu obwenjuwulo ku mitendera gyonna.
Kyakutuumibwa Uganda Professional Sports Institute.
Omwogezi wa FUFA, Ahmed Hussein, agambye nti mu kiseera kino FUFA eyogeraganya nabakulu mu byenjigiriza, okubawa amagezi ku byetagisa okufuula ekifo kino ekyébyenjigiriza.
Ahmed Hussein agambye nti ekifo kino nga kimaze okufuna license okuva mu National Council for Higher Education kigenda kutuumibwa Uganda Professional Sports Institute, era abantu bakugenda nga eno okufuna obuyigirize mu mizannyo egyenjawulo bafune ebbaluwa okuvira ddala ku certificate okudda waggulu.
Ebyo nga biri bityo, omupiira oguzanyidwa mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, club ya BUL ekubye URA goolo 2-0 mu kisaawe e Kakindu Jinja.