Ebya club ya KCCA bibi mu Uganda Premier League, ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, bwekyusiza obuwanguzi bwa club eno, ne buwebwa club ya Mbarara City.
Mu kusooka club ya KCCA ebadde yawangula Mbarara City goolo 2-0.
Omupiira guno gwazanyibwa nga 07 January,2025 e Kakyeka Mbarara.
Wabula oluvanyuma lw’omupiira guno,. Mbarara City yekubira endulu mu FUFA, nga erumiriza KCCA okuzannyisa omuzannyi Gavin Kizito Mugweri, nga takirizibwa mu mateeka olw’okuba yali ewezeza kaadi eza kyenvu 3.
Mu mbeera yeemu FUFA eyimirizza omukomonsi wa firimbi William Oloya ebbanga lya myezi 6 nga talinnya mu kisaawe, olw’obutawandiika kaadi eza kyenvu ze yawa abazannyi Gavin Kizito Mugweri ne Anthony Emojong, KCCA bwe yali ettunka ne club ya NEC mu liigi ya season eno.
Era olw’obutawandiika kaadi zino kye kiviiriddeko embeera eno eya KCCA okufiirwa obuwanguzi, era Mbarara City kati efunye obubonero 3 ne goolo 3.
Mungeri yeemu FUFA eragidde ddifiri William Oloya, okuddayo okusoma course enyimpi emuyigiriza okuwandiika ebyo ebibaddewo mu kisaawe, era okusoma kuno kwa buwaze.
Oluvanyuma lwa KCCA okugibwako obuwanguzi buno kati egenze mu kifo kya 5 n’obubonero 24 okuva ku 27, ate kati Mbarara City egenze ku bubonero 17 okuva ku bubonero 14.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe