Ttiimu ya Uganda ey’omupiira ogw’ebigere ey’abazannyi abatasussa myaka 17 egy’obukulu eya Uganda Cubs akalulu kagisudde ku Senegal ku mutendera gwa ttiimu 32, mu mpaka z’ensi yonna eza FIFA U17 World Cup eziyindira e Doha Qatar.
Omupiira guno gugenda kuzannyibwa ku Saturday nga 15 November,2025.
Uganda okutuuka ku mutendera guno yamaze kuwangula bannantameggwa b’empaka eza 2001 aba France ku goolo 1-0 eyateebeddwa James Bogere.
Okukuba France kyayambye Uganda okuwangula omupiira gwayo ogwasoose mu mpaka zino, era yavudde mu kibinja K nga yakusatu n’obubonero 4.
Uganda yaggulawo empaka zino ng’ekubwa Canada ku goolo 2-1, oluvanyuma yagwa amaliri ne Chile goolo 1-1.
Senegal egenda okuzannya ne Uganda, ye ttiimu yokka eya semazinga Africa ku 10 ezakiika mu mpaka zino eyamazeko ekibinja ng’ekikulembedde, nga yayiseewo nga ekulembedde ekibinja C n’obubonero 07.
Singa Uganda eyita ku Senegal, olwo ejja kuzannya n’omuwanguzi wakati wa Germany ne Burkina Faso ku mutendera gwa ttiimu 16.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












