Ekibiina kya FDC nakyo kisambazze omuwendo gw’obululu obwalangiriddwa nti omuntu waabwe eyavuganya ku ky’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North Sadaati Mukiibi Agha Naga, abakulu mu kakiiko baalangirira nti yafuna obululu 239 bwokka.
President wa FDC Eng. Patrick Oboi Amriat asinzidde mu lukuηaana lwa bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi n’abagamba nti wadde bakkiriza obuwanguzi bwa Kanso Elias Luyimbaazi Nalukoola n’okumuyozaayoza, wabula bawakanya ne ssekuwakanya omuwendo gw’obululu ogwaweereddwa omuntu wabwe eyajidde ku kaadi ya FDC.
POA agamba nti obululu obwo tebutegeeza nti ogwo gwemuwendo gwabawagizi bebalina e Kawempe, n’agamba nti bino byonna byava ku kutiisatiisa abawagizi baabwe nga kukolebwa ab’ebitongole by’ebyokwerinda.
Eng. POA ayagala abakulu mu kakiiko k’ebyokulonda bannyonnyole ekibalemesa okukola omulimu gwabwe nga bwebateekeddwa okugukola.
FDC weviiriddeyo nga ne NRM yavuddeyo nesambajja obululu obwaweereddwa omuntu wabwe, era netegeeza nti egenda kwekubira enduulu mu kooti.