Munakibiina kya FDC Eng. Patrick Amuriat Oboi azeemu okulangirirwa ng’omukulembeze wa FDC ekisanja eky’okubiri, awangudde Byamugisha Moses n’obululu 800 ku bululu 187.
Okusinziira ku semateeka afuga FDC, kino kyekisanja kya Eng Patrick Amuriat Oboi ekisembayo kubwa president.
Sabawandiisi wa FDC Nathan Naddala Mafaabi ayiseewo nga tavuganyiziddwa, mu kulonda kwa FDC.okuyindidde mu e Lugogo.
Jack Sabiiti kati ye Sentebe w’ekibiina omuggya, asikidde Ambassador Wasswa Biriggwa.
Godfrey Ekanya amezze Akero Frank Judith ku kifo ky’omuwanika w’ekibiina ng’amuwangulidde ku bululu 626 ku 355.
Omubaka wa Mawokota South Yusuf Nsibambi asikidde Lord Mayor Salongo Hajji Erias Lukwago ku ky’obumyuka bw’omukulembeze w’ekibiina mu Buganda, ate era ye nampala omuggya ow’ababaka ba FDC mu parliament.
Bino byonna nga tebinabaawo wabaddewo okulwanagana okwabaluseewo oluvanyuma lw’okuwangulwa kwa Ibrahim Kasozi eyaliko omubaka wa Makindye West, ku kifo ky’okukunga n’okuteekerateekera ekibiina.
Kino tekyasanyudde omu kubawagizi be naasalawo okulumba sentebe w’akakiiko k’ebyokukonda Toterebuka Bamwenda n’omuwandiisi waakwo Ojobile Augustine era byagweredde mukuwanyisiganya bikonde.
Ibrahim Kasozi oluvanyuma yayogeddeko eri abantu nakkiriza nti awanguddwa.
Sabawandiisi w’ekibiina kya DP Gerald Siranda naye yetabye mu Ttabamiruka wa FDC era ewabadde okulonda, era asabye banna FDC okukuuma obumu okusobola okutukiriza ebirubirirwa by’ekibiina.#