Obwakabaka bwa Buganda bulangiridde nti fayinolo y’empaka z’amasaza ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno 2024, zigenda kuzannyibwa mu kisaawe e Namboole nga 02 November.
Minister w’ebyemizannyo abavubuka n’ebitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga yakakasiza Obuganda amawulire gano mu lukungana lwa bannamawulire lwatuuziza mu Bulange e Mengo.
Mungeri yeemu Owek Sserwanga akinogaanyizza nti Obwakabaka ebisale bigenda kubeera bisaamusaamu eri abantu abagenda mu kisaawe e Namboole okuwagira amasaza gabwe.
Bino bigidde mu kiseera ng’empaka za masaza ziri ku mutendera gwa semifinal, era mu luzannya olwasoose Buddu yakubye Kyadondo goolo 3-1 mu kisaawe e Wankulukuku, ate Kyaggwe yakubye Buweekula goolo 2-1 mu kisaawe kya Bishops e Mukono.
Ttiimu zino zigenda kuddingana ku Sunday ejja nga 13 October, 2024 okufunako ezigenda ku fayinolo e Namboole.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe













