Munnakibiina kya NRM Faridah Nambi Kigongo yekubidde enduulu mu kooti enkulu ng’awakanya obuwanguzi bwa Munnakibiina kya NUP Elias Luyimbaazi Nalukoola ng’omubaka wa Kawempe North.
Nambi agamba nti Nalukoola yatyoboola amateeka g’eby’okulonda, naawa eky’okulabirako nti ku lunaku lw’okulonda lwennyini, yawulira Nalukoola ng’akyakuyega abalonzi. nti ng’akozesa ebigambo nti ” Yeenze Nalukoola”
Ng’ayita mu bannamateeka be aba Crane Advocates, awawabidde n’akakiiko k’eby’okulonda nti kaalemererwa okutegeka akalulu akaamazima n’obwenkanya, nti kubanga yalemererwa okubala obululu bwe obuwera 16,640 bweyalina okufuna okuva mu bifo ebironderwamu ebiwera 14.
Munnamateeka we Ahmed Kalule agamba nti siinga obululu bw’omuntu wabwe bwonna bwabalibwa, yali asobola bulungi okusussa obululu 17,939 obwawanguza Nalukoola.
Nambi kati ayagala kooti enkulu esazeemu obuwanguzi bwa Elias Nalukoola, erangirire okulonda kwe Kawempe North kuddibwemu.
Ekifo ky’omubaka wa Kawempe North kyalangirirwa nti kyereere mu January wa 2025, oluvannyuma lw’eyali omubaka waayo Muhammad Sseggiriinya okuva mu bulamu bw’ensi.
Bisakiddwa: Betty Zziwa