Omuzannyi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’okubaka eya She Cranes, Faridah Kadondi, mu butongole yegasse ku club ya Nottingham Forest egucangira mu liigi ya babinywera ey’okubaka eya Bungereza.
Faridah Kadondi okugenda mu club ya Nottingham Forest avudde mu club ya Weyonje Netball Club egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda.
Ajjukirwa nnyo olw’omutindo gwe yayolesa mu mpaka z’ensi yonna eza Netball World Cup ezaali e South Africa mu 2023, Uganda She Cranes mweyakolera ekyafaayo olw’okumalira mu kifo eky’okutaano ekintu ekyali kitabangawo.
Mungeri yeemu Faridah Kadondi yali musaale ku ttiimu eyakiikirira Uganda mu mpaka za first 5 World Series eza 2022.
Afuuse munnayuganda ow’okutaano okuzannyira mu liigi ya babinywera eya Bungereza ey’okubaka, abalala ye Peace Proscovia, Mary Nuba, Stella Oyella ne Hunisha Muhammed Nakate.#
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe