Kooti enkulu ekalize omuvubuka Mulinzi Bilal ow’emyaka 30, yebake mu nkomyo emyaka 15 bwasingisiddwa omusango gw’okunyakula ensawo y’omulamuzi Gladys Kaamasanyu bweyali agenda okunona ebyava mu bigezo bya mutabani we eyali atudde ekibiina eky’omusanvu ku ssomero lya Green Hill Academy e Kibuli.
Mulinzi ne banne abalala bwebavunaanibwa baatuusa obuvune ku mulamuzi bwebaali bamunyagako ensawo ye, omwali akakadde ka shs 1,850,000,, densite y’omulimu gwe, akazigo ke, saako essimu ekika kya IPhone ebalirirwamu obukadde bwa shs 4.
Mulinzi abadde yakamala ku alimanda emyaka 2, emyezi 9 ne nnaku 3 akkiriza omusango, wabula banne abalala omusango bagwegaanye.
`Mulinzi Bilal kati asigazzaayo emyaka 12 emyezi 2 n’ennaku 7 ng’ali mu nkomyo.
Obujulizi bulaga nti Mulinzi Bilal yennyini yeyalumba omulamuzi eyali ayimiridde ku mulyango oguyingira essomero, n’amukuba agakonde naagwa wansi, olwo ekibinja ky’abavubuka abalala beyali nabo neboongerezaako, bwebaamugonza nebamusikako ensawo gyeyalina, nga bino byaliwo nga 17 July, 2021.
Omudduukirize amanyiddwa nga Matovu yeyamusanga ng’agudde eri ng’atandise okwesika, n’amuddusa mu ddwaliro.#