Police ye Nsangi ekutte abantu 3 bagiyambeko ku kunoonyereza ku nfa yeyali DPC Julius Ahimbisibwe , agambibwa nti yettidde mu maka ge agansibwa e Nakitokolo Nsangi mu Kyengera town council.
Abakwatiddwa kuliko n’omutuuze ayambako police okugiwa amawulire ( Informer).
Police ng’ekulembeddwamu DPC w’e Nsangi Rogers Kyamenti ezze omulambo neguggyayo mu tanka y’amazzi negutwala okwongera okwekebejjebwa.
Ahimbisibwe yaliko DPC wa police station ya Kira Road ne station ya Jinja Road ne Nsangi police Station.
Gyebuvuddeko yava mu mbeera naakuba mukyalawe Annet Namusoke essasi eryamukosa ennyo, oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya mu maka.
Bakamaabe baamuyimiriza ku mulimu nataandika okuwerennemba n’emisango egy’okulumya omuntu, saako okukozesa obubi emmundu.
Gigambibwa abadde yamalirizza ekibonerezo era ng’abadde wakuddamu okukola essaawa yonna.
Abatuuze be Nakitokolo Nsangi bagamba nti abadde yakomyeewo ewa mukyalawe gweyakuba essasi Annet Namusoke ku Good Friday, ate kibabuuseeko okufuna amawulire ku saawa nga munaana ez’ekiro ekikeesezza Easter Monday, Ahimbisibwe yeyimbyemu ogw’akabugu neyeggya mu budde.
Abadde n’abakyala 2, nga kigambibwa nti bombi balumiriza nti Bbaabwe aludde nga yewera okwetusaako obulabe.#