Eyaliko minister omubeezi ow’e Kalamoja Agnes Nandutu asingisiddwa omusango gw’okubulankanya amabaati 2000.agaali ag’abantu abawejjere e Kalamoja.
Omulamuzi wa Kooti ewozesa abalyake n’abakenuzi eya eya Anti – Corruption Court bw’abadde asingisa Nandutu omusango ategeezezza nti Nandutu ng’eyali minister yamanya bulungi nti amabaati geyali afunye gaali gavudde mu nteekateeka ya government ey’okukyusa embeera z’abantu abanaku, nga n’olwekyo kyali kikyamu okukkiriza okukulira ebintu bya government.
Amusindise mu kkomera e Luzira okutuusa ku Friday nga 10 April,2026 lwanakomawo aweebwe ekibonerezo.
Ebimu ku bibonerezo byayolekedde, ayinza okusibwa emyaka 7 oba okulagibwa okusasula engassi.
Omusango guno ogw’abakulu mu government okwekomya amabaati g’e Kalamoja, gwalimu neyali minister Gorret Kitutu ne minister omubeezi ow’okuteekerateekera eggwangaAmos Lugoloobi era nga bano mu nkomyo baabeerayo ekiseera nebaggyibwako emisango.
Abalala abaanokolwayo mu kwekomya amabaati, kwaliko, minister w’ebyensimbi Matia Kasaija, omumyuka wa president Jesca Alupo, sipiika wa parliament, Anitah Annet Among, ne Ssaabaminister Robinah Nabbanja, wabula bano tebaatwalibwa mu kooti.#












