Abayizi 900 nebaweebwa amabaluwa ku mutendera gwa Diploma ne Certificate mu masomo g’ebyemikono ku ttendekero lya Excel Vocational Training Centre Bombo Kalule.
Amatikkira ag’omulundi ogwe 12 gayindidde ku ttendekero lino erisangibwa ku kyalo Kalule mu gombolola ye Nyimbwa mu district ye Luweero.
Bafunye obukugu mu kukanika, okufumba, Okutunga,okutimba ku mikolo, Eby’okwewunda n’ebirala.
Omutandisi w’ettendekero lino era ssentebe wa NRM mu district ye Bukomansimbi Shafik Mwanje asabye government okwongera amaanyi mu masomo ag’emikono nga bayambako ku matendekero nga gano nebikozesebwa, nti kubanga ly’essuubi ly’eggwanga mu by’enkulaakulana.
Agambye nti eby’emikono z’empagi okutambulizibwa ensi.
“Amawanga gakula batandikawo mirimu sso ssi banoonya mirimu” – Shafik Mwanje
Akulira woofisi ya ssentebe wa NRM era omukulembeze w’eggwanga Hajjati Hadijjah Namyalo agumizza abatikkiddwa government yakubakwasizaako nga bawebwa ebikozesebwa baleme kufuuka bakireereese nga bamalirizza okufuna obukugu.
Abawadde amagezi okwettanira n’enteekateeka za government ez’okwekulaakulanya naddala eya Parish Development model bafune entandikwa.
Ambassador w’eggwanga lya Iran mu Uganda, era nga bebamu ku bakwasizaako ettendekero lino Majid Safar yetabye ku mukolo guno, era n’asuubiza okwongera okuliwagira nga bwebazze bakola omuli n’okutwala abamu b’ettendekero lino e Iran okwongera okukuguka mu bintu ebyenjawulo.
Super Supreme Mufti wa Uganda Mahammad Galabuzi akuutidde abayizi abatikiddwa okubeera abesigwa mu mirimu gyabwe.#