Abatuuze be Zziba Kasanje Buwaya mu district ye Wakiso bagudde ku mulambo gwa mutuuze munnabwe nga yattiddwa, omulambo gwe negubikkibwako ebitooke.
Attiddwa ye muvubuka Geoffrey Ssaamanya omulambo gwe gusaangiddwamu effumu, erigambibwa okuba nti eyamusse lyeyakozesezza.
Kigambibwa nti Ssaamanya alina munne bwebabadde bakaayanira akatundu ku kibanja akaweza fuuti emu n’ekitundu, abatuuze kebateebereza nti kandiba nga kekamussizza.
Ssaabanya abadde yakasimba ebitooke era abatuuze basanze byakuuliddwa, nebibikkibwa ku mulambo.
Police eyitiddwa n’eggyayo omulambo
Bisakiddwa: Lukenge Sharif