Program Entanda ya Buganda yatandika ku Radio ya Kabaka CBS mu 2003, n’ebigendererwa eby’enjawulo byonna nga bisimbye mu kiragiro kya Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ekyatandisaawo Radio eno.
Program Entanda ya Buganda eruubirira Okukuuma, Okutumbula n’okwagazisa abantu Olulimi Oluganda, Ennono, Obuwangwa n’obulombolombo.
Okukulaakulanya abantu ba Kabaka okuyita mu Lulimi Oluganda n’okukozesa CBS Radio ng’essomero ly’olulimi Oluganda, Obuwangwa, Ennono n’obulombolombo.
Abantu bangi bazze baganyulwa mu Ntanda ya Buganda okuli abasajja n’abakazi abazze beewangulira ebirabo eby’amaanyi omuli ettaka okuzimbiddwa amasomero, amaka, ebirabo ebikalu ng’emmotoka, Piki Piki, n’ebirala ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo.
Omuwanguzi ow’okuntikko aweebwa ekitiibwa Eky’Omuzira mu Bazira era eyasooka okukyetikka ye Musambaganyi Mutaawe Samuel eyawangula ettaka ku kyalo Kalagala mu ssaza Mawokota mu ditrict y’e Mpigi.
Ku ttaka yazimbirwako amaka amatuufu ng’akusimbiddwako n’olusuku.
Oluvannyumma Samuel Mutaawe (Omuzira mu Bazira 2003) yazimbako essomero , Urban Nursery and Primary School ng’omu ku kaweefube w’okusitula n’okutumbula eby’enjigiriza mu kitundu.#